Psalms 134

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1 aMulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 bMugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
mutendereze Mukama.

3 c Mukama eyakola eggulu n’ensi
akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
Copyright information for LugEEEE